Lamentations 5

1 aJjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
Tunula olabe ennaku yaffe.
2 bOmugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
3 cTufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
4 dTusasulira amazzi ge tunywa;
n’enku tuteekwa okuzigula.
5 eAbatucocca batugobaganya;
tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
6 fTwakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
okutufuniranga ku mmere.
7 gBajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
8 hAbaddu be batufuga,
tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
9Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 iOlususu lwaffe luddugadde ng’enziro
olw’enjala ennyingi.
11 jAbakyala ba Sayuuni,
n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 kAbalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 lAbakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
n’abavubuka tebakyayimba.
15 mEmitima gyaffe tegikyasanyuka,
n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 nEngule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
Zitusanze kubanga twonoonye!
17 oEmitima gyaffe kyegivudde gizirika,
era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 pOlw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
ebibe kyebivudde bitambulirako.

19 qGgwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 rLwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 sTukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
otuzze buggya ng’edda;
22 twabula ng’otusuulidde ddala,
era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.
Copyright information for LugEEEE